Exodus 25:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kerubi omu abeere ku nkomerero y'oluuyi olumu n'omulala ku nkomerero y'oluuyi olulala olw'Entebe ey'Obusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kola kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda endala; bakerubi n'entebe ey'okusaasira birikolwa okuva mu zaabu emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omu ku nsonda emu, n'omulala ku nsonda endala, ne bafuukira ddala kitundu kya ntebe ey'obusaasizi, ku nsonda zaayo zombi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.