Exodus 25:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli bandeetere ekitone; ononfunira ekitone kino ku buli muntu omutima nga bwe gumusindika okukiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tegeeza abaana ba Isiraeri bakuleetere ebiweebwayo byange, nga buli muntu bw'anaakubirizibwa mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tegeeza Abayisirayeli, bantonere ebirabo. Buli muntu mulimuggyako ekirabo ky'ayagala okuntonera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.