Exodus 25:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakerubi baliba ebiwawaatiro byabwe babyanjululizza waggulu, nga babikkirira Entebe y'Obusaasizi n'ebiwaawaatiro byabwe; nga batunuuliraganye, ng'amaaso gaabwe gatunuulidde Entebe y'Obusaasizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuliganye amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakerubi balitunuuliragana, era nga batunuulidde entebe ey'obusaasizi, n'ebiwaawaatiro byabwe ebyanjuluze, birigibikka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.