Exodus 25:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ojja kukola emmeeza mu muti ogw'akasaana, emikono ebiri obuwanvu, omukono gumu obugazi, ate omukono gumu n'ekitundu obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita; emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulikola emmeeza ey'omuti ogwa akasiya, sentimita kinaana mu munaana obuwanvu, sentimita ana mu nnya obugazi, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.