Exodus 25:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kukolerako essowaani, ebijiiko, n'ensumbi, n'entiba zaayo ez'okufukanga ekitone eky'okuyiwa; okolanga bya zaabu omwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olikola essowaani zaayo, n'ebbakuli zaayo, eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, nensumbi zaayo eby'okuttuluza. Olibikola mu zaabu ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mulikola essowaani n'ensaniya ez'okuteekako obubaane, ensuwa n'ebikopo eby'okukozesa ku biweebwayo ebinywebwa. Mulibikola mu zaabu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.