Exodus 25:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettabi ebbereberye lya kubaako ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli; n'ettabi eryokubiri lya kubaako nalyo ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli, bwe kityo ne ku matabi omukaaga gonna agaawukana okuva ku kikondo ky'ettawaaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli limu ku matabi omukaaga liribeerako ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, omutwe n'ekimuli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli limu ku matabi omukaaga, liribeerako ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya alumondi okuli ekituttwa n'ekimuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;