Exodus 25:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo entwe emu wansi w'amatabi abiri agasooka, agava ku kikondo; entwe wansi w'amatabi abiri agaddirira, entwe wansi w'amatabi asatu agaddirira. Kibeere bwe kityo ne ku matabi omukaaga agaawukana ku kikondo ky'ettawaaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wansi wa buli matabi abiri ku matabi omukaaga agava ku nduli y'ekikondo, wabeewo ekituttwa kimu, nga kya zaabu ye omu n'ow'ekikondo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.