Exodus 25:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talenta emu eya zaabu omwereere y'ey'okukola ekikondo ky'ettawaaza n'ebikikozesebwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekikondo ky'ettaala n'ebintu byakyo byonna birikolebwa mu kilo amakumi asatu mu ttaano eza zaabu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.