Exodus 25:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukulaga ekifaananyi ky'Ekisulo n'ekifaananyi ky'ebintu byamu byonna ebinaakozesebwangamu; bikole nga bwe nnaaba mbikulaze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulikola ne byonna ebikirimu, nga mugoberera enkola gye nnaakulaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.