Exodus 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lubaawo lwa kubaako emikono kkumi obuwanvu ate omukono gumu n'ekitundu obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lubaawo luliba lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga obugazi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanwu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo.