Exodus 26:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lubaawo luteekwa okussibwako emirumyo ebiri ebiri, bw'otyo bw'oba okola ku mbaawo zonna ez'Ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ya Mukama ozikole bw’otyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka; bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga luliko ennimi bbiri kwe ziyinza okugattirwa. Embaawo zonna ez'Eweema Entukuvu, bwe mutyo bwe mulizikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka: bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema.