Exodus 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kuwoola entobo amakumi ana eza ffeeza ku lw'embaawo amakumi abiri; entobo bbiri wansi w'olubaawo olusooka olw'emirumyo gyazo ebiri, ne ku luddako entobo bbiri olw'emirumyo gy'azo ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olikola ebinnya ebya ffeeza ana (40) wansi w'embaawo abiri (20); ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo: ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri: