Exodus 26:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwanvu bwa buli mutanda bunaaba bwa mikono abiri mu munaana, obugazi emikono ena: emitanda gyonna nga gya kipimo kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono abiri mu munaana (28), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gyonna muligikola nga gyenkanankana, nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu.
Recommended Reading