Exodus 26:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezo ziteekwa kugattibwa bbiri okuva wansi okutuukira ddala waggulu ne zisibwa n'empeta embereberye; n'embaawo ebbiri ez'ensonda endala bwe ziba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ziriba bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo, okutuuka ku mpeta esooka; bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ezo zombi zirigattibwa okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe mutyo bwe mulikola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziriba bbiri bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo okutuuka empeta emu: bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri.