Exodus 26:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo walibaawo embaawo munaana n'entobo zaazo eza ffeeza kkumi na mukaaga; entobo bbiri wansi w'olubaawo olubereberye n'endala bwe zityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga (16); ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walibaawo embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga ebya ffeeza, bibiri wansi wa buli lubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.