Exodus 26:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kuluwanika ku bikondo bina eby'empagi eby'omuti ogw'akasaana ezibikkiddwa zaabu, n'amalobo aga zaabu, nga zisimbiddwa mu ntobo nnya eza ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulirukwasa n'amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, ezibikkiddwako zaabu, era ensimbe mu binnya bina ebya ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza.