Exodus 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ossanga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro ogw'omutanda ogusembayo ku lubu olw'emitanda etaano olusooka; okolanga kye kimu ne ku mukugiro ogw'omutanda ogusembayo ku lubu olwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulikola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.