Exodus 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuwanvu bw'omutanda kinnagumu bwa kubeera emikono asatu, obugazi emikono ena; emitanda ekkumi n'ogumu gyakuba n'obunene bumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono asatu (30), n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena; emitanda kkumi na gumu (11) giribeera gya kigero kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mutanda guliba gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu giribeera gya kigero kimu.