Exodus 26:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etaano ku mitanda gino ogitabanga wamu mu lubu lumu; egisigadde omukaaga ne giba mu lulala; ogwomukaaga ogufunyangamu wabiri mu maaso g'Eweema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitanda etaano muligigatta wamu gyokka, n'emitanda omukaaga nagyo ne mugigatta gyokka. Omutanda ogw'omukaaga muligufunyamu wabiri mu bwenyi bwa Weema Entukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema.