Exodus 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye kimu, ne ku luuyi olw'emambuka wa kubeerayo entimbe nga za mikono kikumi obuwanvu n'ebikondo byazo amakumi abiri n'entobo zaabyo amakumi abiri nga za kikomo, n'amalobo g'ebikondo n'emikiikiro nga bya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi (100) obuwanvu, n'empagi zaalwo abiri (20), n'ebinnya byazo abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entimbe bwe zityo bwe ziriba ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa mu binnya byazo amakumi abiri eby'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.