Exodus 27:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusukka obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba, wa kubeerayo entimbe za mikono ataano, ebikondo byazo kkumi n'entobo zaabyo kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono ataano (50); empagi zaabyo kkumi (10), n'ebinnya byazo kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ludda olw'ebugwanjuba, walibaayo entimbe za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi, n'ebinnya kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano: empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi.