Exodus 27:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugazi bw'oluggya, ku luuyi olw'ebuvanjuba okwolekera enjuba gy'eva, wa kubeerayo emikono ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'obugazi bw'oluggya okuva ku mulyango okudda ebuvanjuba, bulibeera emikono ataano (50).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ludda olw'ebuvanjuba, oluliko omulyango, oluggya luliba lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba mu buvanjuba bulibeera emikono amakumi ataano.