Exodus 27:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku luuyi olumu olw'omulyango, wa kubeerayo entimbe za mikono kkumi n'etaano, n'ebikondo byazo bisatu, n'entobo zaabyo ssatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano (15) empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku buli ludda olw'omulyango, walibeerayo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, n'ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.