Exodus 27:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulyango ogugenda mu luggya gwa kubeerako olutimbe lwa mikono amakumi abiri obugazi, nga lulukiddwa mu wuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu n'olugoye olwa bafuta olulange, omulimu gw'omudaliza; lwa kuwanikibwa ku bikondo ebina mu ntobo zaabyo nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono abiri (20), olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza; empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulyango gwennyini gulibeeramu olutimbe lwa mita mwenda obuwanvu, olulukiddwa mu lugoye olulungi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, nga kutungiddwako omudalizo. Luliwanirirwa ebikondo bina ebisimbiddwa mu binnya bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza: empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina.