Exodus 27:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluggya lwa kubeerako emikono kikumi mu buwanvu, emikono amakumi ataano mu bugazi, n'emikono etaano mu busimba. Entimbe zonna za kukolebwa mu ngoye eza bafuta ennange n'entobo zaazo za kikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi (100), n'obugazi ataano (50) wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluggya luliba lwa mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri obugazi ne mita bbiri n'ebitundu bibiri obugulumivu. Entimbe zirikolebwa mu lugoye olulungi, ebinnya biriba bya kikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi, n'obugazi amakumi ataano wonna wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo.