Exodus 27:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna eby'okukozesa mu Kisulo, enkondo zaakyo zonna n'ez'oluggya, byonna biteekwa kubeera bya kikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byonna eby'omu weema, mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu, n'enkondo zaayo zonna, n'enkondo zonna ez'oluggya, biriba bya kikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu byonna eby'omu weema mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.