Exodus 27:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ojja kulagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omukamule ogwa oliva omwereere, gwe gw'ettawaaza okugikuuma ng'eyaka obutasalako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeyituuni agakubibwa ag'ettaala okwasa ettaala bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oliragira Abayisirayeli bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzayiti, ag'okuteeka mu ttaala, esobole okwakanga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeeyituuni agakubibwa ag'ettabaaza, okwasa ettabaaza bulijo.