Exodus 27:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni ne batabani be banaakuumanga ettawaaza eno ng'eyakira mu maaso g'Omukama, mu Weema ey'Ensisinkano, ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuku y'Endagaano, okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Lino tteeka lya lubeerera ku Bayisirayeli amazadde gaabwe gonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama; linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna mu baana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni ne batabani be baliteeka ettaala mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, ebeerenga ebweru w'olutimbe oluli mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, eyakirenga awo mu maaso gange, okuva olweggulo okutuusa enkya. Etteeka eryo linaakuumibwanga ennaku zonna Abayisirayeli ne bazzukulu baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama: linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna ku lw'abaana ba Isiraeri.