Exodus 28:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba bakuleetere mu Bayisirayeli muganda wo Aroni ne batabani be bampeerezenga nga bakabona: Aroni, Nadabu, Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era sembeza gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, bampeereze mu bwakabona; Alooni n'abaana be: Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu Bayisirayeli bonna, yitayo muganda wo Arooni ne batabani be, Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari, ne Yitamaari, basembere w'oli, bampeereze mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni.