Exodus 28:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukaaga ku mannya gaabwe ga kubeera ku limu, n'agasigadde omukaaga ku ddala, nga baddiriŋŋana nga bwe bajja bazaalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja eryokubiri, nga bwe bazaalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amannya mukaaga ku jjinja erimu, n'amalala mukaaga ku jjinja eddala, nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaalibwa.