Exodus 28:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja gombi ogoolangako amannya g'abatabani ba Yisirayeli ng'omuwunzi w'amayinja ag'omuwendo bw'akola; olwo amayinja oganyigire mu mapeesa aga zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; oligeetoolooza amapeesa aga zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olifuna omusazi w'amayinja omukugu, n'oyola ku mayinja abiri amannya ga batabani ba Yisirayeli. Amayinja ago n'ogasiba mu mbu za fuleemu eza zaabu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu.