Exodus 28:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja abiri ojja kugatunga ku biwuzi by'efodi eby'oku bibegabega ng'ekijjukizo kya batabani ba Yisirayeli. Aroni bw'atyo anaatwaliranga amannya gaabwe ku bibegabega bye byombi mu maaso g'Omukama ng'ekijjukizo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali Mukama ng’ekijjukizo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri; era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era oligateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega eby'ekkanzu okujjuukirirangako abaana ba Yisirayeli. Mu ngeri eyo, ndyoke nzijukirenga abantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.