Exodus 28:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja gano galiwo ku lw'amannya g'abatabani ba Yisirayeli, kkumi n'abiri ng'amannya gaabwe bwe gali, nga gooleddwako, nga ku buli limu kuliko erinnya limu ku lw'ebika ekkumi n'ebibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri (12), ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, liriyolwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri.