Exodus 28:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Aroni ajja kutwaliranga ku kifuba kye amannya g'abatabani ba Yisirayeli, ku kipaapi eky'okulamula, bw'anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, ng'ekijjukizo mu maaso g'Omukama bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, ng'ayambadde ekyambalo eky'omu kifuba ekyo, ekyoleddwako amannya g'ebika bya Yisirayeli, Nze Mukama ndyoke nzijukirenga abantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omu kifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.