Exodus 28:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kipaapi ky'okulamula ayongerangako Wurimu ne Tummimu, Aroni asobole okubeeranga nabyo ku kifuba ng'agenze mu maaso g'Omukama. Bw'atyo Aroni bulijjo anaatwaliranga ku kifuba kye akabonero ak'okulamula Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu, era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali Mukama. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oliteeka mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, Ulimu ne Sumimu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama; ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliteeka Wurimu ne Tummimu mu kyambalo eky'omu kifuba, Arooni alyoke abisitulenga ng'ajja mu maaso gange. Mu biseera ng'ebyo, anaayambalanga ekyambalo eky'omu kifuba, alangirirenga eri Abayisirayeli, Nze Mukama bye njagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliteeka mu ky'omu kifuba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.