Exodus 28:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni agwambalanga ng'akola emirimu emitongole, era okuvuga kw'obude kunaawulirwanga buli lw'anaayingiranga Ekifo Ekitukuvu mu maaso g'Omukama, oba ng'akivaamu; bw'atyo aleme kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali Mukama, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni anaagwambalanga bw'anaabanga aweereza mu bwakabona. Bw'anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu mu maaso gange, oba bw'anaafulumanga, eddoboozi ly'endege linaawulirwanga, aleme okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.