Exodus 28:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ojja kukola ekimuli ekya zaabu omwereere okyoleko ebigambo bino nti: ‘Mutukuvu ku lw'Omukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti, Mutukuvu wa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olikola akapande aka zaabu omulungi, n'oyolako ebigambo nti ‘AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.