Exodus 28:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kinaabanga ku kyenyi kya Aroni ne yeetikka bw'atyo omusango gw'ebyonoono ebiri mu bintu ebitukuvu ebiwongebwa Abayisirayeli mu bitambiro byabwe byonna ebitukuvu. Kinaabanga ku kyenyi kye ebbanga lyonna, abafuule abakkirizibwa ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, Mukama alyoke akkirize ebirabo ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni; ne Alooni anettikkanga okusobya kw'abaana ba Isiraeri nga bawaayo ebirabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni anaakateekanga mu kyenyi kye bulijjo, nze Mukama ndyoke nzijukirenga ebirabo byonna Abayisirayeli bye bawaayo gye ndi, abantu ne bwe babaako ensobi ze bakola mu kubiwaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.