Exodus 28:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye byambalo bye bajja okukola: ekipaapi eky'oku kifuba, efodi, omunagiro, ekkanzu enduke, ettambaala n'omusipi, bibakolerwe babeere bakabona abampeereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibaawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba; era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, bampeereze mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'essaati eriko omudalizo, n'ekiremba eky'oku mutwe, n'olukoba. Balikolera muganda wo Arooni ne batabani be ebyambalo ebyo ebitukuvu, bye banaayambalanga nga bampeereza mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona.