Exodus 28:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino olibyambaza Aroni muganda wo ne batabani be, n'olyoka obasiiga omuzigo, n'obawa obwakabona, n'obatukuza bampeerezenga mu bwakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olyambaza Arooni muganda wo ne batabani be ebyambalo ebyo. Olibasiiga omuzigo, n'obaawula n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.