Exodus 28:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekimyu ky'efodi ekyagiriko kyali kintu kimu nayo mu nkola ye emu; nga kya zaabu n'ewuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu, mu lugoye olwa bafuta olulange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, lulitungibwa ddala ku yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa.