Exodus 29:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ente ennume ento eyo ogittiranga mu maaso g'Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oligittira mu maaso gange Nze Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.