Exodus 29:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma endiga ogitemaatemanga ebifi n'oyoza ebyenda n'ebigere n'obissa kungulu ku bifi ne ku mutwe gwayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oligitemaatemamu ebitundu, n'onaaza ebyenda byayo n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'omutwe gwayo, n'ebitundu byayo ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo.