Exodus 29:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogittanga, n'oddira ku musaayi gwayo n'ogussa ku kasammambiro k'okutu kwa Aroni okwa ddyo, ne ku busammambiro bw'amatu g'abaana be aga ddyo, ne ku kyalakisajja ow'emikono gyabwe egya ddyo, ne ku kigere ekisajja ku ddyo, olwo omusaayi n'ogumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'olyoka ogitta, n'oddira ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda ey'okutu okwa ddyo okwa Arooni ne ku nsonda ez'amatu aga ddyo aga batabani be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku byalabisajja eby'oku bigere byabwe. Omusaayi ogusigaddewo oligumansira ku njuyi zonna ez'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'oku bigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola.