Exodus 29:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oddiranga ku musaayi oguli ku mwaliiro ne ku muzigo ogusiiga n'ogumansira ku Aroni ne ku byambalo bye ne batabani be ne ku byambalo byabwe. Olwo ye aliba atukuziddwa n'ebyambalo bye, era ne batabani be, n'ebyambalo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye; naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olitoola ku musaayi oguli ku alutaari, n'otwala ne ku muzigo ogusiigibwa, n'obimansira ku Arooni n'ebyambalo bye, ne ku batabani be n'ebyambalo byabwe. Ye ne batabani be balitukuzibwa, era ebyambalo bye n'ebyabwe nabyo biritukuzibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye: naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye.