Exodus 29:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oddiranga amasavu g'endiga ennume: ekikira, amasavu agabikka ebyenda, olububi lw'oku kibumba, ensigo ebbiri n'amasavu gaakwo agazibikka, ko ekisambi ekya ddyo, kubanga eno ye ndiga ennume ey'omu mukolo ogw'okuwa obwakabona,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oliggyako amasavu g'endiga, n'ekitundu ky'omukira gwayo ekisava, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza: