Exodus 29:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'oggya mu kisero ky'emigaati egitazimbulukuse egiri mu kisero mu maaso g'Omukama, omugaati gumu ogw'oluwewere, kkeeki ekoleddwa n'omuzigo emu n'akagaati ak'oluwewere kamu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibbwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukusiddwa akali mu maaso ga Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ku migaati egitazimbulukusiddwa, egiri mu kisero, egiteekeddwa mu maaso gange, Nze Mukama, olitoolako omugaati gumu, n'akagaati kamu akasiigiddwako omuzigo, n'omugaati ogw'oluwewere gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama: