Exodus 29:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Otwalanga ekifuba ky'endiga y'omukolo ogw'okuwa Aroni obwakabona, n'okiweereza ng'ekitone eky'okuwuuba eri Omukama; ogwo gwe guliba omugabo gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era ekyo kinaabanga mugabo gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oliddira ekifuba ky'endiga ey'omukolo ogw'okwawula Arooni, n'okiwaayo gye ndi, ng'okiwuuba mu maaso gange, era ekyo kiriba mugabo gwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era ekyo kinaabanga mugabo gwo.