Exodus 29:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otukuzanga ekifuba n'okugulu, ebyaweerezeddwa mu kitone eky'okuwuuba ebyateekeddwa ku bbali, eby'endiga ennume ey'omukolo ogw'okuwa Aroni ne batabani be obwakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kwawula kabona, ekifuba n'ekisambi eby'endiga ey'omukolo ogwo ogw'okwawula, binaaweebwangayo gye ndi nga biwuubibwa, era nga bisitulibwa, ne biba bya Arooni ne batabani be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be: