Exodus 29:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Guno gwe gunaabanga omugabo gwa Aroni ne batabani be ogw'olubeerera okuva mu Bayisirayeli, okuva lwe kiri ekitundu ekyawulidwa Abayisirayeli ku bitambiro byabwe eby'okussa ekimu; kino kitone kya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna, kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa; era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe banaawangayo ebitambiro byabwe eby'okuliira awamu olw'okutabagana, ekifuba n'ekisambi eby'ensolo, binaabeeranga bya bakabona ab'olulyo lwa Arooni ennaku zonna. Kino kye kirabo Abayisirayeli kye banampanga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.